Luganda Bible
|
| 1 |
| Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge. |
| 2 |
| Kubanga onoolyanga emirimu egy'emikono gyo: Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi. |
| 3 |
| Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nju ez'omunda mu nnyumba yo: Abaana bo ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo. |
| 4 |
| Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu Atya Mukama. |
| 5 |
| Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni: Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo. |
| 6 |
| Weewaawo, oliraba abaana b'abaana bo. Emirembe gibeere ku Isiraeri. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/128.mp3
150
128