×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 128

1
Bonna abassaamu Mukama ekitiibwa ne bakolera ku by'alagira, ba mukisa.
2
Olirya ku bibala by'entuuyo zo, oliraba ebirungi, oliba wa mukisa.
3
Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nnyumba yo. Abaana bo baliba ng'amatabi ag'omuti omuzayiti nga beetoolodde olujjuliro lwo.
4
Ddala omuntu assaamu Mukama ekitiibwa bw'atyo bw'aliweebwa omukisa.
5
Mukama akuwe omukisa ng'asinziira mu Siyooni, olabe Yerusaalemu bwe kikulaakulana, ennaku zonna ez'obulamu bwo.
6
Owangaale olabe ku bazzukulu bo. Emirembe gibeere ku Yisirayeli.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes