Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge. |
| 2 |
| Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi. |
| 3 |
| Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo. |
| 4 |
| Bw’atyo bw’aweebwa emikisa omuntu atya Mukama. |
| 5 |
| Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni, era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi ennaku zonna ez’obulamu bwo. |
| 6 |
| Owangaale olabe abaana b’abaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/128.mp3
150
128