EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge. |
| 2 |
| Kubanga onoolyanga ebibala ebiva mu kukola kwo, Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi. |
| 3 |
| Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala ennyo mu nnyumba yo; Abaana bo nga balinga ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo. |
| 4 |
| Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu Atya Mukama. |
| 5 |
| Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni; Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo. |
| 6 |
| Owangaale olabe abaana b'abaana bo. Emirembe gibeere ku Isiraeri. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/128.mp3
150
128