Luganda Bible
|
| 1 |
| Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange Isiraeri ayogere kaakano; |
| 2 |
| Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange: Naye ne batampangula. |
| 3 |
| Abakabala baakabala omugongo gwange; Baatema ensalosalo empanvu, |
| 4 |
| Mukama mutuukirivu: Asazeesaze emigwa egy'ababi. |
| 5 |
| Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe ennyuma, Bonna abakyawa Sayuuni. |
| 6 |
| Babe ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula: |
| 7 |
| Omukunguzi n'atajjuza ogwo omukono gwe, Newakubadde asiba ebinywa ekifuba kye. |
| 8 |
| Newakubadde abayita teboogera Nti Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe; Tubawadde omukisa mu linnya lya Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/129.mp3
150
129