Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Yisirayeli agambe nti: “Okuva mu buto bwange, bambonyaabonyezza emirundi mingi. |
| 2 |
| Okuva mu buto bwange bambonyaabonyezza emirundi mingi, naye ne batampangula. |
| 3 |
| Banfumita ebiwundu mu mugongo, ne bagufuula ng'ennimiro ekabaliddwa. |
| 4 |
| Naye Mukama mwenkanya; yakutula emiguwa gy'ababi.” |
| 5 |
| Bonna abakyawa Siyooni bawangulwe bazzibwe emabega. |
| 6 |
| Babe ng'omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, ogukala nga tegunnakula. |
| 7 |
| Oyo agukungula teguwezaamu lubatu, n'oyo agukuŋŋaanya taguwezaamu kiganda. |
| 8 |
| Era abayitawo tebaligamba nti: “Mukama abawe omukisa. Tubawa omukisa mu linnya lya Mukama.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/129.mp3
150
129