EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Emirundi mingi gye bambonyabonyezza okuva mu buvubuka bwange Isiraeri ayogere kaakano; |
| 2 |
| Emirundi mingi gye baakambonyabonyezza okuva mu buvubuka, Naye tebaampangudde. |
| 3 |
| Bakubye omugongo gwange ne babanga abakabala ennimiro, Gujjudde enkovu. |
| 4 |
| Mukama mutuukirivu; Asazeesaze emigwa egy'ababi. |
| 5 |
| Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe emabega, Bonna abakyawa Sayuuni. |
| 6 |
| Babe ng'omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula. |
| 7 |
| Omukunguzi tayinza gujjuza mu lubatu lwe, Newakubadde asiba oguwezaamu ekinywa. |
| 8 |
| wadde abayitawo baleme kwogera Nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe! Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama!” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/129.mp3
150
129