Luganda Bible
|
| 1 |
| Olituusa wa, ai Mukama, okunneerabiranga emirembe gyonna? Olituusa wa okunkisanga amaaso go? |
| 2 |
| Ndituusa wa okuteesanga mu mmeeme yange, Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba? Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze? |
| 3 |
| Lowooza onziremu, ai Mukama Katonda wange: Yakira amaaso gange, nneme okwebaka okufa; |
| 4 |
| Omulabe wange alemenga okwogera nti Mmuwangudde: Abankyawa balemenga okujaguza nga nsagaasagana. |
| 5 |
| Naye nneesize okusaasira kwo; Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo: |
| 6 |
| Naayimbiranga Mukama, Kubanga ankoledde obulungi obungi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/013.mp3
150
13