Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Olinneerabira kutuusa ddi, ayi Mukama? Olinneekweka emirembe gyonna? |
| 2 |
| Ndituusa wa okweraliikiriranga, n'okuwulira mu mutima obuyinike olunaku lwonna? Omulabe wange alituusa wa okunninnyako? |
| 3 |
| Ayi Mukama Katonda wange, ntunuulira onziremu. Nzizaamu amaanyi, nneme kufa. |
| 4 |
| Omulabe wange aleme okugamba nti: “Mmuwangudde.” Abankyawa baleme kujaganya nga nterebuse. |
| 5 |
| Naye nze neesiga ekisa kyo, nnaasanyukanga kubanga olindokola. |
| 6 |
| Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi bingi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/013.mp3
150
13