EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ayi Mukama, Olituusa wa? Onoonneerabira emirembe gyonna? Olituusa wa okunneekweka? |
| 2 |
| Ndituusa wa okweraliikiriranga, N'okuwulira obuyinike mu mutima gwange obudde okuziba? Omulabe wange alituusa wa okunneegulumiririzaako? |
| 3 |
| Lowooza onziremu, ayi Mukama Katonda wange. Nzizaamu amaanyi, nneme okufa. |
| 4 |
| Omulabe wange alemenga okugamba nti, “ Mmuwangudde. Abankyawa baleme okujaganya nga nterebuse. |
| 5 |
| Naye nze nneesize okwagala kwo okutajjulukuka. Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo. |
| 6 |
| Nnaayimbiranga Mukama, Kubanga ankoledde ebirungi bingi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/013.mp3
150
13