×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 130

1
Ayi Mukama nkukaabira nga nsobeddwa;
2
Mukama, owulire eddoboozi lyange; Otege amatu go eri Eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
3
Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ayi Mukama, aliyimirira aluwa?
4
Naye waliwo okusonyiwa gy'oli, Olyoke otiibwenga.
5
Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira, Era ekigambo kye lye ssuubi lyange.
6
Emmeeme yange erindirira Mukama, Okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya; Ddala okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7
Ggwe Isiraeri, suubiriranga mu Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okwagala okwolubeerera, Era awali ye we wali okununula okungi.
8
Era oyo alinunula Isiraeri Mu butali butuukirivu bwe bwonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes