×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 132

1
Jjukira Ayi Mukama, Dawudi, Okubonaabona kwe kwonna kweyagumiikiriza.
2
Bwe yalayirira Mukama, Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo;
3
Ssiriyingira mu nnyumba yange, wadde okugenda mu kitanda kyange;
4
Ssirikkiriza tulo kunkwata, Newakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5
Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo, Eweema ey'Omuzira wa Yakobo.
6
Laba, twagiwulirako mu Efulasa; Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira.
7
Tuliyingira mu weema ze; Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye.
8
Golokoka, Ayi Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu; Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go.
9
Bakabona bo bambale obutuukirivu; N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu.
10
Ku lw'omuddu wo Dawudi Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
11
Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka, Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
12
Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.
13
Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni; Yasiima okukituulamu.
14
Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna, Wano we nnaatuulanga; kubanga nsiimyewo.
15
Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n'ebirungi byakyo; Nnakkusanga abaavu baakyo emmere.
16
Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi; N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.
17
Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza, Nnamuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.
18
Abalabe be ndibambaza ensonyi; Naye ku mutwe gwe engule ey'ekitiibwa ekingi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes