×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 135

1
Mutendereze Mukama! Mwe abaweereza ba Mukama, mutendereze erinnya lye.
2
Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe,
3
mutendereze Mukama kubanga mulungi. Muyimbe erinnya lye kubanga wa kisa.
4
Mukama yeeroboza aba Yakobo, abantu ba Yisirayeli okuba ababe.
5
Mmanyi nga Mukama mukulu, mukulu okusinga balubaale bonna.
6
Buli ky'ayagala akikola mu ggulu era ne mu nsi, n'ebuziba mu nnyanja.
7
Ayimusa ebire ku njuyi zonna ez'ensi, aleeta okumyansa mu nkuba, n'afulumya embuyaga mu mawanika ge.
8
Mu Misiri yatta abaggulanda, ab'abantu n'ebisolo.
9
Eyo e Misiri yakolerayo ebyewuunyo n'ebyamagero okubonereza kabaka waayo n'abakungu be bonna.
10
Yazikiriza amawanga mangi, n'atta bakabaka ab'amaanyi:
11
Sihoni kabaka w'Abaamori, ne Ogi kabaka w'e Basani, ne bakabaka bonna ab'e Kanaani.
12
Ensi yaabwe n'agiwa abantu be. Yagiwa Abayisirayeli bagyefuge.
13
Erinnya lyo, ayi Mukama, lisigalawo ennaku zonna. onojjukirwanga emirembe gyonna.
14
Mukama anaataasanga abantu be, anaasaasiranga abaweereza be.
15
Balubaale b'amawanga, bifaananyi bya ffeeza ne zaabu, ebyakolebwa abantu.
16
Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba.
17
Birina amatu, naye tebiwulira, era tebissa mukka.
18
Ababikola n'ababyesiga bafaanana nga byo.
19
Mmwe abantu ba Yisirayeli, mutendereze Mukama. Mmwe ab'ennyumba ya Arooni, mutendereze Mukama.
20
Mmwe ab'ennyumba ya Leevi, mutendereze Mukama. Mmwe abassaamu Mukama ekitiibwa, mumutendereze.
21
Mukama abeera mu Yerusaalemu, atenderezebwe mu Siyooni. Mutendereze Mukama!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes