|
| 1 |
|
| Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama; Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama; |
|
| 2 |
|
| Mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe. |
|
| 3 |
|
| Mutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi; Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu. |
|
| 4 |
|
| Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba eky'omuwendo gy'ali. |
|
| 5 |
|
| Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna. |
|
| 6 |
|
| Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna. |
|
| 7 |
|
| Alagira ebire ne byekulumulula okuva ku nkomerero y'ensi; Atonnyesa enkuba erimu okumyansa; Asumuluula empewo mu mawanika ge. |
|
| 8 |
|
| Ye yakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo. |
|
| 9 |
|
| Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna. |
|
| 10 |
|
| Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi; |
|
| 11 |
|
| Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani: |
|
| 12 |
|
| N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be. |
|
| 13 |
|
| Erinnya lyo, Ayi Mukama, lya lubeerera ennaku zonna; Limanyibwa, Ayi Mukama, okutuusa emirembe gyonna. |
|
| 14 |
|
| Kubanga Mukama aliggyako abantu be omusango, Era alisaasira abaweereza be, |
|
| 15 |
|
| Ebifaananyi eby'amawanga ebya ffeeza, ne zaabu, Bikolebwa n'amikono gy'abantu. |
|
| 16 |
|
| Birina emimwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; |
|
| 17 |
|
| Birina amatu, naye tebiwulira; Ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka. |
|
| 18 |
|
| Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana. |
|
| 19 |
|
| Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mutendereze Mukama; Mmwe ennyumba ya Alooni, mutendereze Mukama; |
|
| 20 |
|
| Mmwe ennyumba ya Leevi, mutendereze Mukama; Mmwe abatya Mukama, mutendereze Mukama. |
|
| 21 |
|
| Mukama ali mu Sayuuni atenderezebwe, Atenderezebwe oyo abeera mu Yerusaalemi. Mutendereze Mukama. |
|
|
|
|