×

Luganda Bible

Zabbuli 136

1
Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2
Mumwebaze Katonda wa bakatonda: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3
Mumwebaze Mukama w'abaami: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4
Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5
Oyo eyakola eggulu n'amagezi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
6
Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7
Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
8
Enjuba okufuga emisana: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
9
Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
10
Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
11
N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
12
N'engalo ez'amaanyi, n'omukono omugolole: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
13
Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
14
N'ayisa Isiraeri wakati mu yo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
15
Naye n'asuulira Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
16
Oyo eyaluŋŋamiza abantu be mu ddungu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
17
Oyo eyakuba bakabaka abakulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
18
N'atta bakabaka abaatiikirivu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
19
Sikoni kabaka w'Abamoli: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
20
Ne Ogi kabaka w'e Basani: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
21
N'agaba ensi yaabwe okuba obusika: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
22
Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
23
Eyatujjukira bwe twajeera: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
24
N'atuwonya eri abalabe baffe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
25
Awa ebyokulya ebirina emibiri byonna: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
26
Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes