|
| 1 |
|
| Mwebaze Mukama kubanga mulungi, ekisa kye kya mirembe gyonna. 100:5; 106:1; 107:1; 118:1; Yer 33:11 |
|
| 2 |
|
| Mwebaze Katonda afuga balubaale, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Mwebaze Mukama w'abakama, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 4 |
|
| Ye yekka akola ebyamagero ebikulu, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 5 |
|
| Eggulu yalikoza magezi, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 6 |
|
| Yayaliira ensi ku mazzi, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 7 |
|
| Yakola ebyaka ebikulu, ekisa kye kya mirembe gyonna, |
|
| 8 |
|
| enjuba efugenga emisana, ekisa kye kya mirembe gyonna; |
|
| 9 |
|
| omwezi n'emmunyeenye bifugenga ekiro, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 10 |
|
| Yatta abaggulanda b'Abamisiri, ekisa kye kya mirembe gyonna; |
|
| 11 |
|
| n'aggya Abayisirayeli mu Misiri, ekisa kye kya mirembe gyonna, |
|
| 12 |
|
| n'omukono gwe omugolole ogw'amaanyi, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 13 |
|
| Yayawula mu Nnyanja Emmyufu wakati, ekisa kye kya mirembe gyonna, |
|
| 14 |
|
| n'ayisa Abayisirayeli wakati waayo, ekisa kye kya mirembe gyonna, |
|
| 15 |
|
| naye n'asaanyizaamu kabaka w'e Misiri n'eggye lye, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 16 |
|
| Yakulembera abantu mu ddungu, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 17 |
|
| Yatta bakabaka ab'amaanyi, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 18 |
|
| Yatta bakabaka abamanyifu, ekisa kye kya mirembe gyonna: |
|
| 19 |
|
| Sihoni kabaka w'Abaamori, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna, |
|
| 20 |
|
| ne Ogi kabaka wa Basani, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 21 |
|
| Ensi yaabwe n'agiwa abantu be, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 22 |
|
| Yagiwa Abayisirayeli bagyefuge, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 23 |
|
| Yatujjukira bwe twawangulwa, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 24 |
|
| N'atuwonya abalabe baffe, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 25 |
|
| Awa emmere ebitonde byonna ebiramu, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
| 26 |
|
| Mwebaze Mukama ow'omu ggulu, ekisa kye kya mirembe gyonna. |
|
|
|
|