×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 136

1
Mwebaze Omukama, kubanga mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
2
Mwebaze Katonda wa balubaale, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
3
Mwebaze Omukama w'abakama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
4
Eyakola ebyewuunyisa eby'ekitalo obw'omu ati, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
5
Eyakola eggulu n'obukugu, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
6
Eyayanjuluza ensi ku mazzi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
7
Eyakola ebyaka ebinene, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
8
Enjuba efuge emisana, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
9
Omwezi n'emmunyeenye bifuge ekiro, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
10
Eyatta abaggulanda ba Misiri, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
11
N'aggyayo Yisirayeli mu bo wakati, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
12
N'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
13
Eyayawulamu awabiri Ennyanja ey'Ebiwuuwa, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
14
N'asomosa Yisirayeli ng'amuyisa mu yo wakati, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
15
Eyayiwa Faraawo n'eggye lye mu Nnyanja y'Ebiwuuwa, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
16
Eyayisa abantu be mu ddungu, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
17
Eyakuba bakabaka ab'amaanyi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
18
N'atta bakabaka ab'obuyinza, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
19
Sikoni, kabaka w'Abaamori, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
20
Ne Ogi, kabaka w'e Basani, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
21
Ensi ye n'agigaba ng'obusika, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
22
Ng'obusika ku Yisirayeli omuwereza we, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
23
Eyatujjukira mu kutoowazibwa kwaffe, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
24
N'atununula ku balabe baffe, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
25
Awa emmere buli kitonde, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
26
Mugulumize Katonda w'eggulu, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes