|
| 1 |
|
| Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 2 |
|
| Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Mwebaze Mukama w’abafuzi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 4 |
|
| Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 5 |
|
| Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 6 |
|
| Oyo eyabamba ensi ku mazzi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 7 |
|
| Oyo eyakola ebyaka ebinene, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 8 |
|
| Enjuba yagikola okufuganga emisana, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 9 |
|
| Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 10 |
|
| Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 11 |
|
| N’aggya Isirayiri mu Misiri, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 12 |
|
| Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola; kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 13 |
|
| Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 14 |
|
| N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 15 |
|
| Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu; kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 16 |
|
| Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 17 |
|
| Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 18 |
|
| N’atta bakabaka ab’amaanyi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 19 |
|
| Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 20 |
|
| Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 21 |
|
| N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 22 |
|
| Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 23 |
|
| Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 24 |
|
| N’atuwonya abalabe baffe, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 25 |
|
| Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 26 |
|
| Kale mwebaze Katonda w’eggulu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
|
|
|