|
| 1 |
|
| Mumwebaze Mukama, kubanga mulungi: Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 2 |
|
| Mumwebaze Katonda wa bakatonda; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Mumwebaze Mukama w'abaami; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 4 |
|
| Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 5 |
|
| Oyo eyakola eggulu n'amagezi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 6 |
|
| Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 7 |
|
| Oyo eyakola ebyaka ebikulu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 8 |
|
| Enjuba okufuga emisana; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 9 |
|
| Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 10 |
|
| Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 11 |
|
| N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 12 |
|
| Yabaggyamu n'omukono gwe ogw'amaanyi gwe yagolola, Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 13 |
|
| Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 14 |
|
| N'ayisa Isiraeri wakati mu yo; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 15 |
|
| Naye n'asaanyaawo Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 16 |
|
| Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 17 |
|
| Oyo eyakuba bakabaka ab'amaanyi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 18 |
|
| N'atta bakabaka abaatiikirivu; Kubanga okuwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 19 |
|
| Sikoni kabaka w'Abamoli; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 20 |
|
| Ne Ogi kabaka w'e Basani; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 21 |
|
| N'agaba ensi yaabwe okuba obusika; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 22 |
|
| Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 23 |
|
| Eyatujjukira bwe twajeera; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna: |
|
| 24 |
|
| N'atuwonya eri abalabe baffe; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 25 |
|
| Awa eby'okulya ebirina emibiri byonna; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
| 26 |
|
| Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. |
|
|
|
|