Luganda Bible
|
| 1 |
| Okumpi n'emigga egy'e Babulooni, Twatuulawo wansi, weewaawo, ne tukaaba amaziga: Bwe twajjukira Sayuuni. |
| 2 |
| Ku miti egyali wakati mu kyo Ne tuwaaikako ennanga zaffe. |
| 3 |
| Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni. |
| 4 |
| Tunaayimbanga tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe? |
| 5 |
| Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gwerabirenga amagezi gaagwo. |
| 6 |
| Olulimi lwange lwegattenga n'ekibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange ekkulu. |
| 7 |
| Ojjukire, ai Mukama, ku baana ba Edomu Olunaku olw'e Yerusaalemi; Abaayogera nti Kisuule, kisuule, Era n’emisingi gyakyo. |
| 8 |
| Ggwe omuwala ow'e Babulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe. |
| 9 |
| Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka ku jjinja. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/137.mp3
150
137