×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 137

1
Kumpi n'emigga gy'e Babilooni gye twatuula ne tukaaba amaziga, bwe twajjukira Siyooni.
2
Ne tuwanika ennanga zaffe, ku miti egiriraanyeewo,
3
kubanga eyo abaatutwala mu busibe baatugamba okuyimba. Abatubonyaabonya baatulagira okusanyuka nti: “Mutuyimbire mu nnyimba za Siyooni.”
4
Tuyinza tutya okuyimba oluyimba lwa Mukama mu nsi eteri yaffe?
5
Bwe nkwerabira ggwe Yerusaalemu, omukono gwange ogwa ddyo gukalambale.
6
Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, bwe siikujjukirenga era bwe siikwagalenga okusinga byonna ebinsanyusa.
7
Ayi Mukama, jjukira aba Edomu kye baakola ku lunaku Yerusaalemu lwe kyawambibwa, bwe baagamba nti: “Mukisaanyeewo, mukisaanyeewo n'emisingi gyakyo!”
8
Ggwe Babilooni oli wa kuzikirizibwa. Wa mukisa akusasula bye watukola.
9
Wa mukisa alikwata abaana bo abato n'abafuntula ku lwazi!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes