×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 137

1
Okumpi n'emigga egy'e Babbulooni, Twatuulawo wansi, ne tukaaba amaziga, Bwe twajjukira Sayuuni.
2
Ku miti egyali awo Ne tuwanikako ennanga zaffe.
3
Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagira okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti, “Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.”
4
Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe?
5
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gukalambale!
6
Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange lyonna.
7
Jjukira, Ayi Mukama, abaana ba Edomu Ku lunaku Yerusaalemi bwe kyasuulibwa; Abaayogera nti, “ Kisuule, kisuule, n'emisingi gyakyo!”
8
Ggwe omuwala ow'e Babbulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe.
9
Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka Ku jjinja.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes