×

Luganda Bible

Zabbuli 138

1
Nneebazanga n'omutima gwange gwonna: Mu maaso ga bakatonda naayimbanga okukutendereza.
2
Nnaasinzizanga eri yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go: Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
3
Ku lunaku lwe nnakaabirirako wampitaba, N'oŋŋumya n'amaanyi mu mmeema yange.
4
Bakabaka bonna ab'ensi balikwebaza, ai Mukama, Kubanga bawulidde ebigambo eby'akamwa ko.
5
Weewaawo, baliyimba ku makubo ga Mukama; Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi.
6
Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye n'alowooza abeetoowaza: Naye ab'amalala abamanya ng'ayima wala.
7
Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza; Oligolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo gulindokola.
8
Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako: Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes