Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza. |
| 2 |
| Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna. |
| 3 |
| Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange. |
| 4 |
| Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama, nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko. |
| 5 |
| Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene. |
| 6 |
| Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala. |
| 7 |
| Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya. |
| 8 |
| Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/138.mp3
150
138