×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 138

1
Nneebazanga n'omutima gwange gwonna; Mu maaso ga bakatonda nnaayimbanga okukutendereza.
2
Nnaasinzizanga eri Yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go; Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
3
Ku lunaku lwe nnakukoowoolerako wampitaba, N'oŋŋumya mu mmeeme yange.
4
Bakabaka bonna ab'ensi baanaakutenderezanga Ayi Mukama, Kubanga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5
Baanaayimbanga ku makubo ga Mukama; Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi.
6
Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye afaayo eri abo abeetoowaza; Naye ab'amalala ababeera wala.
7
Newakubadde nga nneetooloddwa ebizibu, naye gwe okuuma obulamu bwange, Ogolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo ondokola.
8
Mukama alituukiriza ebyo by'anteekeddeteekedde; Okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes