Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Abasirusiru bagamba mu mitima gyabwe nti: “Tewali Katonda.” Boonoonese, bakoze ebibi ebyenyinyalwa, tewali n'omu akola kirungi. |
| 2 |
| Mukama asinziira mu ggulu, n'atunuulira abantu, alabe oba nga waliwo abategeera, oba nga waliwo abanoonya Katonda. |
| 3 |
| Naye bonna bawabye, bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati. |
| 4 |
| Bonna abakola ebibi, tebalina magezi? Bakavvula abantu bange ng'abalya emmere, era tebasinza Mukama. |
| 5 |
| Naye balitya nnyo, kubanga Katonda ali wamu n'abatuukirivu. |
| 6 |
| Ababi balemesa omwavu okutuukiriza by'ateesa, naye Katonda kye kiddukiro kye. |
| 7 |
| Singa nno oyo aliwonya Yisirayeli alisibuka mu Siyooni! Mukama bw'alizzaawo embeera ennungi mu bantu be, aba Yakobo balisanyuka, Abayisirayeli balijaguza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/014.mp3
150
14