×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 140

1
Ayi Mukama, mponya abantu ababi, ontaase abatemu.
2
Bayiiya eby'ettima mu mitima gyabwe, teboosa kusiikuula ntalo.
3
Ennimi zaabwe bazisongoza ng'ez'emisota, akamwa kaabwe kalimu obusagwa ng'obw'essalambwa.
4
Ayi Mukama, mponya abantu ababi, ontaase abatemu.
5
Abeekulumbaza banteze omutego, baaliiridde ekitimba, ne bakitega mu kkubo.
6
Ŋŋamba Mukama nti: “Ggwe Katonda wange.” Wulira okukaaba kwange, ayi Mukama, onnyambe.
7
Ayi Mukama, Mukama wange, omuyambi wange ow'amaanyi, ggwe onkuumye mu lutalo.
8
Ayi Mukama, ababi tobawa bye baagala, tobakkiriza kutuukiriza bye bategeka.
9
Abalabe bange baleme kuwangula, eby'okutiisatiisa bye boogera bibaddire.
10
Amanda agengeredde gagwe ku bo, bagwe mu bunnya obuwanvu, baleme kubuvaamu.
11
Awaayiriza abalala abulweko w'abeera mu nsi; omutemu, ebibi bye bimuyiggenga okumuzikiriza.
12
Mmanyi nga Mukama ataasa ababonyaabonyezebwa, era alwanirira abanaku.
13
Ddala abenkanya balikutendereza, abatuukirivu balibeera mu maaso go.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes