Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama, omponye abantu abakambwe; |
| 2 |
| abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera. |
| 3 |
| Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa. |
| 4 |
| Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya. |
| 5 |
| Abantu ab’amalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange. |
| 6 |
| Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama! |
| 7 |
| Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo. |
| 8 |
| Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga, era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira; baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza. |
| 9 |
| Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe zibeekyusizeeko baboneebone. |
| 10 |
| Amanda agaaka omuliro gabagwire; basuulibwe mu muliro, bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna. |
| 11 |
| Tokkiriza balimba kweyongera bungi; abakambwe bayigganyizibwe bazikirire. |
| 12 |
| Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya. |
| 13 |
| Abatuukirivu banaakutenderezanga, era w’oli we banaabeeranga. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/140.mp3
150
140