EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Omponye, Ayi Mukama, eri omubi; Onkuume eri abantu abakambwe; |
| 2 |
| Abategeka okukola eby'ettima mu mutima gwabwe; abanoonya entalo buli kiseera. |
| 3 |
| Basongodde olulimi lwabwe ng'omusota; Ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng'obw'essalambwa. |
| 4 |
| Onkuume, Ayi Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye abantu abakambwe; Abateesezza okunkyamya. |
| 5 |
| Ab'amalala banteze omutego; Banjuluza ekitimba kyabwe; Batega emitego mu kkubo lyange. |
| 6 |
| N'agamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, Ayi Mukama. |
| 7 |
| Ayi Mukama, Mukama wange, omulokozi wange ow'amaanyi; Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo. |
| 8 |
| Tokkiriza, Ayi Mukama, omubi by'ayagala; Tokkiriza nteeketeeka za mubi kutuukirira; baleme okwegulumizanga. |
| 9 |
| Abanneetooloodde baleke, Eby'ettima bye boogera bibatuukeko. |
| 10 |
| Amanda agookya gabagweko; Basuulibwe mu muliro; Mu bunnya obuwanvu, baleme okugolokokanga nate. |
| 11 |
| Ayogera obubi taanywerenga mu nsi; Obubi bunaayigganyanga omuntu omukambwe. |
| 12 |
| Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonyaabonyezebwa, ayamba abeetaaga okuyisibwa mu bwenkanya. |
| 13 |
| Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo; Ab'amazima balituula w'oli. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/140.mp3
150
140