×

Luganda Bible

Zabbuli 141

1
Mukama, nkukaabidde; oyanguwe okujja gye ndi: Owulire eddoboozi lyange, bwe nkukaabira.
2
Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng'omugavu; Okugololwa kw'emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.
3
Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange: Okuumenga omulyango gw'emimwa gyange.
4
Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna. Okugenderera ebikolwa eby'obubi Awamu: n'abo abakola ebitali bya butuukirivu: So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
5
Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; Era ambuulirirenga, ng'amafuta ku mutwe; Omutwe gwange gulemenga okugagaana: Kuba newakubadde, mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo.
6
Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g'ejjinja; Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu.
7
Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k'amagombe.
8
Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama: Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba.
9
Onkuume eri omutego gwe bantegedde, N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10
Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze nga mpona.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes