Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama, nkukoowoola, yanguwa okujja gye ndi, ompulire nga nkukoowoola. |
| 2 |
| Okwegayirira kwange, kunyooke okutuuka gy'oli ng'obubaani, n'okugolola emikono gyange kube ng'ekitambiro eky'akawungeezi. |
| 3 |
| Ayi Mukama, kuuma akamwa kange, owumbe emimwa gyange. |
| 4 |
| Tondeka kwagala kukola kibi wadde okwetaba n'abakola ebibi, era nnemenga kwegatta nabo mu kulya embaga zaabwe. |
| 5 |
| Omuntu omulungi ambonereze oba annenye n'ekisa. Naye sikkiriza kitiibwa ekimpeebwa abantu ababi, kubanga bulijjo nnwanyisa ebikolwa byabwe ebibi, nga nsaba Katonda. |
| 6 |
| Abafuzi baabwe bwe balisuulibwa wansi nga bawanulwa ku njazi empanvu, abantu lwe balimanya ebigambo byange bwe biri eby'amazima. |
| 7 |
| Amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe ng'ettaka eritemeddwa amavuunike ne gakubibwa. |
| 8 |
| Ayi Mukama Katonda, nze ntunuulira ggwe, era neesiga ggwe. Tondeka nga siriiko anannyamba. |
| 9 |
| Ontaase emitego gye banteze, n'ebitimba by'ababi. |
| 10 |
| Ababi bagwe mu bitimba byabwe, naye nze mpone. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/141.mp3
150
141