Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi! Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola. |
| 2 |
| Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go, n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi. |
| 3 |
| Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange, era bwe njogera onkomeko. |
| 4 |
| Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi, n’okwemalira mu bikolwa ebibi; nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu, wadde okulya ku mmere yaabwe. |
| 5 |
| Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa; muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange; sijja kugagaana. Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe. |
| 6 |
| Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango, olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima. |
| 7 |
| Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike, n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.” |
| 8 |
| Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda; mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera! |
| 9 |
| Nkuuma omponye omutego gwe banteze, n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu. |
| 10 |
| Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/141.mp3
150
141