×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 141

1
Mukama, nkukoowoola, yanguwa okujja gye ndi! Ompulire nga nkukoowoola.
2
Okusaba kwange kubeere ng'obubaani mu maaso go; N'okugolola emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.
3
Kuuma akamwa kange, Ayi Mukama, Onkomeko bwe njogera.
4
Tolekanga mutima gwange kukola kibi kyonna. Okwemalira mu bikolwa ebibi, Awamu n'abo abakola ebitali bya butuukirivu; era nneme okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
5
Leka omutuukirivu ankube, oba annenye mu kisa, Era tokkiriza amafuta go mubi okufukibwa ku mutwe gwange; Kuba okusaba kwange tekukiriziganya na bikolwa byabwe ebibi.
6
Ababi bwe baliweebwayo eri ab'okubasalira omusango, Ne balyoka bayiga nti, “Ekigambo kya Mukama kya mazima.”
7
Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe.
8
Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, Ayi Mukama Katonda; Nneesiga gwe, tondeka nga ssirina annyamba.
9
Onkuume eri omutego gwe banteze. N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10
Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze mpone.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes