Luganda Bible
|
| 1 |
| Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange neegayirira Mukama. |
| 2 |
| Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza; |
| 3 |
| Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange. Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego. |
| 4 |
| Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi: Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange: |
| 5 |
| Nakukoowoola ggwe, ai Mukama; Nayogera nti Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu. |
| 6 |
| Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo: Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi. |
| 7 |
| Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, neebazenga erinnya lyo: Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/142.mp3
150
142