Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Nkoowoola Mukama, mmwegayirira annyambe. |
| 2 |
| Mmwanjulira ebinnuma byonna, mmulaga obuyinike bwange. |
| 3 |
| Bwe mba nnaatera okuterebuka, ye amanya kye nteekwa okukola. Mu kkubo mwe mpita, bantezeemu omutego. |
| 4 |
| Bwe ntunula ku mabbali ndaba nga tewali anfaako. Tewali gye nzirukira, tewali n'omu annumirwa. |
| 5 |
| Ayi Mukama, nkoowoola ggwe, ne ŋŋamba nti ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu bulamu buno. |
| 6 |
| Wulira okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo. Omponye abanjigganya, kubanga bansinga amaanyi. |
| 7 |
| Onzigye mu kkomera ndyoke nkwebaze ng'abantu bo banneetoolodde, olw'ebirungi by'onkoledde. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/142.mp3
150
142