BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Masikili ya Dawudi; lwe yali mu mpuku. Ssaala. |
| 2 |
| Nkoowoola Omukama mu ddoboozi ery'omwanguka, mpanjagira Omukama mu ddoboozi essitufu. |
| 3 |
| Nnyanjula okwemulugunya kwange mu maaso ge, ne ntegeeza ennaku yange mu maaso ge. |
| 4 |
| Ng'omutima gunnyenjebuse, ggwe omanyi ekkubo lyange. Mu kkubo mwe mpita, mwe bankwekedde ebitimba. |
| 5 |
| Nkyukidde ku ddyo ndabe, naye teri n'omu anfaako. Sirina buddukiro, mpaawo afa ku bulamu bwange. |
| 6 |
| Mpanjaga gy'oli, ayi Mukama; ŋŋamba nti: “Ggwe buddukiro bwange, omugabo gwange, mu nsi y'abalamu.” |
| 7 |
| Wuliriza omulanga gwange, kubanga nakuwaziddwa nnyo. Mponya abanjigganya, kubanga bampitiridde amaanyi. |
| 8 |
| Ggya obulamu bwange mu kkomera, ndyoke ngulumize erinnya lyo; olwo abatuukirivu balinneebungulula kubanga oliba onkoledde ebirungi. |
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/142.mp3
150
142