Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka; neegayirira Mukama ansaasire. |
| 2 |
| Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, ne mmwanjulira ebinteganya byonna. |
| 3 |
| Omwoyo gwange bwe gunnennyika, gw’omanyi eky’okunkolera. Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita. |
| 4 |
| Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako. |
| 5 |
| Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama, nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu nsi muno.” |
| 6 |
| Owulire okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo! Mponya abanjigganya, kubanga bansinza nnyo amaanyi. |
| 7 |
| Nziggya mu kkomera, ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo. Abatuukirivu balinneetooloola, ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/142.mp3
150
142