EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange nneegayirira Mukama. |
| 2 |
| Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza; |
| 3 |
| Omwoyo gwange bwe gunakuwala, ggwe omanyi ekkubo lyange. Bakwese omutego mu kkubo lye ntambuliramu. |
| 4 |
| Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anaambeera; Ekiddukiro kimbuze; tewali n'omu anfaako. |
| 5 |
| Nnakukoowoola ggwe, Ayi Mukama; N'ayogera nti, “Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu. |
| 6 |
| Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo, Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi. |
| 7 |
| Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, nneebazenga erinnya lyo; Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/142.mp3
150
142