Luganda Bible
|
| 1 |
| Owulire okusaba kwange, ai Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo. |
| 2 |
| So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga. |
| 3 |
| Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi: Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda. |
| 4 |
| Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba. |
| 5 |
| Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo. |
| 6 |
| Nnyanjuluza engalo zange eri ggwe: Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ensi ekooye. (Seera) |
| 7 |
| Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakkira mu bunnya. |
| 8 |
| Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe. |
| 9 |
| Omponye, ai Mukama, eri abalabe bange: Nziruka okujja w'oli okwekisa. |
| 10 |
| Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey'obutuukirivu. |
| 11 |
| Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku. |
| 12 |
| Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Omalewo bonna ababonyaabonya emmeeme yange; Kubanga ndi muddu wo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/143.mp3
150
143