×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 143

1
Ayi Mukama, wuliriza okusaba kwange, wuliriza okwegayirira kwange, onziremu, kubanga oli mwesigwa era mwenkanya.
2
Leka kuwozesa muweereza wo, kubanga teri mulamu aba mutuufu mu maaso go.
3
Omulabe anjigganyizza, ampangulidde ddala, n'anteeka mu kizikiza, ne mba ng'abaafa edda.
4
Kyenvudde nterebuka, ne nzigweramu ddala amaanyi.
5
Nzijukira ennaku ez'edda, ndowoolereza byonna bye wakola, nfumiitiriza ebikolwa byo,
6
ne nsitulira gy'oli emikono gyange. Omwoyo gwange gukulumirwa ennyonta, ng'ensi erakasidde.
7
Ayi Mukama, yanguwa okunziramu, nzigwamu amaanyi. Tonneekweka, nneme kuba ng'abo abakkirira emagombe.
8
Ombuulire eby'ekisa kyo buli nkya, kubanga neesiga ggwe. Ondagirire ekkubo lye mba nkwata, kubanga nnyimusiza omwoyo gwange gy'oli.
9
Nzirukira gy'oli, ayi Mukama, omponye abalabe bange.
10
Onjigirize okukola by'oyagala, kubanga ggwe Katonda wange. Ggwe ow'omwoyo omulungi, onnuŋŋamye mu kkubo eggolokofu.
11
Ayi Mukama, kuuma obulamu bwange nga bwe wasuubiza. Nga bw'oli omulungi, onzigye mu buyinike.
12
Nga bw'onkwatirwa ekisa, zikiriza abalabe bange, omalewo bonna abambonyaabonya, kubanga ndi muweereza wo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes