BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, wulira essaala yange, wuliriza okuwanjaga kwange, olw'obwesigwa n'olw'obutuukirivu bwo nnyanukula. |
| 2 |
| Omuweereza wo tomuyita kumuwozesa, kubanga teri mulamu aba mutuukirivu mu maaso go. |
| 3 |
| Anti omulabe ayigganya obulamu bwange, ambetentera ku ttaka, ansuza mu nzikiza ng'abafu abaafa edda. |
| 4 |
| N'omutima gunnyenjebuse, omutima gwange munda guwuniikiridde. |
| 5 |
| Nzijukira ennaku ez'edda; neebuulirira byonna bye wakola, neefumiitiriza emikono gyo bye gyakola. |
| 6 |
| Ngololera gy'oli emikono gyange; nkulumirwa ennyonta ng'ettaka ekkalu. |
| 7 |
| Ayi Mukama, yanguwa okunnyanukula, anti omwoyo gumpweddemu; leka kunkweka maaso go, sikulwa nga mbeera ng'abo abakkirira mu bunnya. |
| 8 |
| Ku makya mpa okuwulira ekisa kyo, kubanga nsuubira mu ggwe; ndaga ekkubo mwe mba ntambulira, kubanga gy'oli gye nsitulidde omwoyo gwange. |
| 9 |
| Ayi Mukama, mponya abalabe bange, mu ggwe mwe neekwese. |
| 10 |
| Njigiriza okukola ky'oyagala, kubanga ggwe Katonda wange. Mwoyo wo omulungi ankulembere mu nsi ey'omuseetwe. |
| 11 |
| Olw'okubeera erinnya lyo, ayi Mukama, nkuuma nga ndi mulamu, mu butuukirivu bwo omwoyo gwange guggye mu nnaku. |
| 12 |
| Olw'ekisa kyo sirisa abalabe bange, zikiriza bonna abampalana; kubanga nze ndi muweereza wo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/143.mp3
150
143