Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, wulira okwegayirira kwange! Ggwe omwesigwa era omutuukirivu jjangu ombeere. |
| 2 |
| Tonsalira musango, kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde. |
| 3 |
| Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi; anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda. |
| 4 |
| Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi, n’omutima gwange gwennyise. |
| 5 |
| Nzijukira ennaku ez’edda, ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna, ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo. |
| 6 |
| Ngolola emikono gyange gy’oli, ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba. |
| 7 |
| Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama, kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi. Tonkisa maaso go, nneme okufaanana ng’abafu. |
| 8 |
| Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo; kubanga ggwe gwe neesiga. Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu, kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli. |
| 9 |
| Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange, kubanga ggwe kiddukiro kyange. |
| 10 |
| Njigiriza okukola by’oyagala, kubanga ggwe Katonda wange! Omwoyo wo omulungi ankulembere, antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe. |
| 11 |
| Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume, mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi. |
| 12 |
| Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo, ozikirize n’abanjigganya bonna, kubanga nze ndi muddu wo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/143.mp3
150
143