×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 143

1
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.
2
So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga.
3
Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi. Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.
4
Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange gwennyise.
5
Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna, Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo.
6
Ngolola emikono gyange eri ggwe; Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ettaka ekkalu.
7
Yanguwa okumpitaba, Ayi Mukama; omwoyo gwange guggwaamu amaanyi; Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakka mu bunnya.
8
Leka mpulirenga ku nkya ku kwagala kwo; kubanga ggwe nneesiga. Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
9
Omponye, Ayi Mukama, eri abalabe bange; Nziruka okujja gy'oli onkuume.
10
Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange, Omwoyo gwo mulungi ankulembere; onnuŋŋamize mu kkubo ery'obutuukirivu.
11
Olw'erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume; Mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12
Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Ozikirize abalabe bange bonna. Kubanga ndi muddu wo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes