×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 144

1
Yeebazibwe Mukama olwazi lwange, Atendeka emikono gyange okulwana, n'engalo zange olutalo.
2
olwazi lwange, era ekigo kyange, Amaanyi gange era omulokozi wange, Engabo yange mwe nneekweka. Akkakkanya abantu wansi we.
3
Mukama, omuntu kye ki, ggwe okumumanya? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4
Omuntu ali nga omukka. Ennaku ze ziriŋŋaanga ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5
Okutamye eggulu lyo, Ayi Mukama, okke! Kwata ku nsozi zinyooke omukka
6
Myansa abalabe basaasaane, Olase obusaale bwo, obateganye.
7
Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu; Omponye, onziggye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannamawanga;
8
Aboogera eby'obulimba, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
9
Nnaakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, Ayi Katonda; N'ennanga erina enkoba ekkumi nnaayimbanga okukutendereza.
10
Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi; Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11
Omponye, onziggye mu mukono gwa bannamawanga, Aboogera eby'obulimba, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
12
Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, babeere ng'emiti egikulidde ddala; N'abawala baffe ng'empagi ez'omu nsonda ezibajjibwa okuzimba olubiri lwa kabaka.
13
Amawanika gaffe gajjule, nga galina ebintu eby'engeri zonna; N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe;
14
Ente zaffe ziwake bulungi, Nga tewali evaamu gwako, oba eremererwa okuzaala. Waleme kubaawo kukaaba n'okwaziirana kwonna mu nguudo zaffe;
15
Abantu abaweereddwa emikisa eggyo beesiimye, Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes