|
| 1 |
|
| Nnaakugulumizanga, ayi Katonda wange era Kabaka wange, nnaakutenderezanga emirembe gyonna. |
|
| 2 |
|
| Nnaakwebazanga buli lunaku, nnaakutenderezanga emirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo, obukulu bwe tebumalikayo. |
|
| 4 |
|
| Ab'omulembe ogumu banaatenderanga ab'omulembe oguddirira bye wakola, banaatenderezanga ebikolwa byo eby'amaanyi. |
|
| 5 |
|
| Nnaalowoolerezanga ku kitiibwa ekinene eky'obukulu bwo, ne ku bye wakola ebyewuunyisa. |
|
| 6 |
|
| Abantu banaayogeranga ku by'entiisa by'okola, nange nnaamanyisanga obukulu bwo. |
|
| 7 |
|
| Banaanyumyanga ku bulungi bwo obungi obumanyiddwa, ne bayimba ku butuukirivu bwo. |
|
| 8 |
|
| Mukama wa kisa era musaasizi, alwawo okusunguwala, era asonyiwa nnyo. |
|
| 9 |
|
| Mukama akolera bulungi bonna, era akwatirwa ekisa byonna bye yakola. |
|
| 10 |
|
| Ebitonde byo byonna binaakutenderezanga, ayi Mukama, n'abantu bo bonna banaakwebazanga. |
|
| 11 |
|
| Banaayogeranga ku kitiibwa ky'obwakabaka bwo, banaanyumyanga ku buyinza bwo, |
|
| 12 |
|
| abantu bonna bamanye eby'amaanyi by'okola, n'ekitiibwa ky'obukulu bw'obwakabaka bwo. |
|
| 13 |
|
| Obwakabaka bwo si bwa kuggwaawo, oli mufuzi emirembe gyonna. Mukama mwesigwa mu by'asuubiza, era wa kisa mu byonna by'akola. |
|
| 14 |
|
| Mukama awanirira bonna abagwa, n'ayimusa abagudde. |
|
| 15 |
|
| Ebiramu byonna bitunuulira ggwe n'obiwa emmere buli lwe bigyetaaga. |
|
| 16 |
|
| Obigabira nga bwe byetaaga, byonna n'obikkusa. |
|
| 17 |
|
| Mukama mutuufu mu byonna by'akola, era wa kisa mu bikolwa bye byonna. |
|
| 18 |
|
| Aba kumpi n'abo bonna abamukoowoola, abamukoowoola mu mazima. |
|
| 19 |
|
| Abamussaamu ekitiibwa abakolera kye baagala, era awulira okukaaba kwabwe n'abalokola. |
|
| 20 |
|
| Akuuma bonna abamwagala, naye asaanyaawo ababi bonna. |
|
| 21 |
|
| Nnaatenderezanga Mukama, era emirembe gyonna ebitonde bye byonna bitenderezenga erinnya lye ettukuvu. |
|
|
|
|