×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 146

1
Mutendereze Mukama. Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2
Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange; Nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3
Temwesiganga balangira Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna.
4
Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo enteekateekaze zonna zifa.
5
Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, Ng'essuubi lye liri mu Mukama Katonda we;
6
Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna; Omwesigwa emirembe gyonna,
7
Asalira omusango abajoogebwa mu mazima; Awa emmere abalumwa enjala; Mukama asumulula abasibe;
8
Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama awanirira abazitoowereddwa; Mukama ayagala abatuukirivu;
9
Mukama akuuma bannamawanga; Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu; Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.
10
Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes