Luganda Bible
|
| 1 |
| Mumutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma. |
| 2 |
| Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab'omu Isiraeri. |
| 3 |
| Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe. |
| 4 |
| Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo. |
| 5 |
| Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka. |
| 6 |
| Mukama awanirira abawombeefu: Asindika wansi ababi. |
| 7 |
| Mumuyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe; |
| 8 |
| Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi. |
| 9 |
| Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba. |
| 10 |
| Tasanyukira maanyi ga mbalaasi: Teyeesiimira amagulu g'omuntu. |
| 11 |
| Mukama yeesiimira abo abamutya, Abo abasuubira okusaasira kwe. |
| 12 |
| Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni. |
| 13 |
| Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo. |
| 14 |
| Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akujjuza obugimu obw'eŋŋaano. |
| 15 |
| Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi. |
| 16 |
| Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu. |
| 17 |
| Aweereza amazzi ge agakutte ng'obukunkumuka: Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze? |
| 18 |
| Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa: Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta. |
| 19 |
| Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri. |
| 20 |
| Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna: N'emisango gye tebagimanyanga. Mumutendereze Mukama. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/147.mp3
150
147