×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 147

1
Mutendereze Mukama. Kirungi okuyimba nga tutendereza Katonda waffe, kubanga wa kisa era agwana okutenderezebwa.
2
Mukama addamu okuzimba Yerusaalemu, akuŋŋaanya Abayisirayeli abaasaasaana.
3
Awonya ab'emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe.
4
Ye amanyi obungi bw'emmunyeenye, zonna n'aziwa amannya gaazo.
5
Mukama waffe mukulu era wa buyinza, n'amagezi ge tegaliiko kkomo.
6
Mukama ayimusa abeetoowaze, n'anyigiriza wansi ababi.
7
Muyimbire Mukama nga mumwebaza, muyimbire ku nnanga nga mumutendereza.
8
Abikka ebire ku ggulu, ateekerateekera ensi enkuba, ameza omuddo ku nsozi.
9
Awa ebisolo emmere yaabyo, ne binnamuŋŋoona ebito ebikaaba.
10
Essanyu lye teriri mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu ggye eritambuza ebigere.
11
Wabula yeesiimira mu abo abamussaamu ekitiibwa, ne mu beesiga ekisa kye.
12
Yerusaalemu tendereza Mukama, Siyooni tendereza Katonda wo,
13
kubanga anyweza ebisiba enzigi zo, abakulimu abawa omukisa.
14
Aleeta emirembe ku nsalo zo, akukkusa eŋŋaano ekira obulungi.
15
Aweereza ekiragiro kye ku nsi, ky'alagira ne kikolebwa mangu.
16
Atonnyesa omuzira ogutukula obulala, asansa omusulo ng'evvu.
17
Aweereza amayinja g'omuzira ng'obukunkumuka. Ani ayinza okugumira obutiti bwe?
18
Ate bw'alagira n'abisaanuusa. Akunsa embuyaga, amazzi ne gakulukuta.
19
Ekigambo kye akibuulira aba Yakobo, amateeka n'ebiragiro bye abimanyisa Abayisirayeli.
20
Ekyo takikoleranga mawanga malala, tagamanyisanga biragiro bye. Mutendereze Mukama!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes