×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 147

1
Alleluuya! Nga kirungi okuyimbira Katonda waffe; nga kisanyusa okumusitulira ettendo!
2
Omukama azimba buggya Yeruzaalemu; akuŋŋaanya abasaasaanye ba Yisirayeli.
3
Awonya abamenyese omutima, n'asiba ebiwundu byabwe.
4
Abala akeesedde k'emmunyeenye, n'aziyita buli emu erinnya.
5
Mukama waffe mukulu, wa maanyi, wa buyinza; okutegeera kwe tekuliiko kigero.
6
Omukama awanirira abanafu, naye ababi abalinnimula ku ttaka.
7
Muyimbire Omukama nga mumwebaza, mumuyimbire Katonda waffe ku nnanga.
8
Abikka eggulu n'ebire, n'awa ensi enkuba, n'ameza omuddo ku nsozi.
9
Awa ebisolo emmere yaabyo, n'obwana bwa nnamuŋŋoona bwe buleekaana.
10
Essanyu lye terimuli mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu kuwenyuka kw'omuntu,
11
wabula Omukama asanyukira mu abo abamutya, abasuubira mu kisa kye. (147)
12
Yeruzaalemu, tendereza Omukama; Siyoni, tendereza Katonda wo.
13
Kubanga yanyweza emiyingo gy'enzigi zo, n'aweera mu ggwe abaana bo omukisa.
14
Ensalo zo yaziwa eddembe, n'akukkusa n'eŋŋano esinga obulungi.
15
Asindika obubaka bwe mu nsi; ekigambo kye kidduka mangu.
16
Abunya wonna omuzira ng'ebyoya by'endiga, obubooya bw'omuzira n'abuwandagaza ng'evvu.
17
Akasuka amayinja ge ag'omuzira ng'obukunkumuka; ani asobola okugumira obutiti bwe?
18
Asindika ekigambo kye ne bisaanuuka, afuuwa empewo ye amazzi ne gakulukuta.
19
Yabuulira Yakobo ekigambo kye, ne Yisirayeli, amateeka n'ebiragiro bye.
20
Mpaawo ggwanga ddala lyonna lye yakolera atyo; ebiragiro bye teyabibamanyisa. Alleluuya!
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes