|
| 1 |
|
| Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira. |
|
| 2 |
|
| Mukama azimba Yerusaalemi; era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse. |
|
| 3 |
|
| Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe. |
|
| 4 |
|
| Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye; era buli emu n’agituuma erinnya. |
|
| 5 |
|
| Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka, n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo. |
|
| 6 |
|
| Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi. |
|
| 7 |
|
| Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza; mumukubire entongooli ezivuga obulungi. |
|
| 8 |
|
| Mukama abikka eggulu n’ebire, ensi agitonnyeseza enkuba, n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi. |
|
| 9 |
|
| Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa. |
|
| 10 |
|
| Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu magulu g’omuntu, |
|
| 11 |
|
| wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo. |
|
| 12 |
|
| Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi, tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni, |
|
| 13 |
|
| kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza, n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa. |
|
| 14 |
|
| Aleeta emirembe ku nsalo zo; n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi. |
|
| 15 |
|
| Aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye ne kibuna mangu. |
|
| 16 |
|
| Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru, n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu. |
|
| 17 |
|
| Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja; bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola? |
|
| 18 |
|
| Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka; n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta. |
|
| 19 |
|
| Yategeeza Yakobo ekigambo kye; Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye. |
|
| 20 |
|
| Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo; amawanga amalala tegamanyi mateeka ge. Mutendereze Mukama! |
|
|
|
|